Omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White owa Bryan White Foundation alabudde abantu bonna abaagala obulamu obulungi okuba n’ekigendererwa mu bulamu.

Omugagga Bryan White agamba nti omuntu yenna alina okuba n’ekigendererwa ate akole nnyo okusobola okukituukiriza.

Asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okuwa amagezi ku nsonga eyo, “Set your goals high, and don’t stop till you get there“.

Mu Uganda, bangi ku bantu banoonya obulamu obulungi kyokka balemeddwa okukola okusobola okukyusa embeera zabwe.

Bryan White okuvaayo okuwa abantu obukodyo bw’okufuna ky’oyagala, kabonero akalaga nti abantu  bangi nnyo, basobola okukyusa embeera zabwe.