Aba famire z’abantu abafiiridde mu nnyanja Nalubaale bakikidde Gavumenti ensingo okulemwa okutangira abantu babwe okufa.
Enkya ya leero, emirambo ebbiri okubadde ogwa Ritah Namale n’ogwa Esther Katushabe gye gikwasiddwa ab’enganda wakati mu biwoobe n’okwazirana ku ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Mulago.

Okusinzira ku Poliisi, bakazuula emirambo 31 okunoonyereza kukyagenda mu maaso.
Wabula mwanyina w’omugenzi Katushabe, Denis Twesigye agamba nti gavumenti tekoze kimala okuteeka obukuumi ku nnyanja n’okulondoola ebyentambula kuba singa kikolebwa, abantu bangi banditaasiddwa.

Namale ne Katushabe bebamu ku bantu abafudde omuli
- Musumba Yoweri-dream plaza and dream hotel, Kampala
- Templar Bisase -the Proprietor of K Palm Beach and owner of the boat
- Sheila Bisase the wife to Templar
- Sheila Bonimpa
- Sheila Nzamukunda
- Esther Arinda
- Isaac Kayondo
- Nyanzi John
- Musisi Micheal
- Owecho Bosco
- Asala Bilditon
- Ndeyu Arnold
- Wamala Derrick
- Ndoli Brian
- Kaddu Micheal
- Kawuki Tony
- Muyenga Moses -the Director Lights Events
- Namala Ritah
- Mawanda Fred
- Ssemakula Paul
- Chuck Brian Salvador n’abalala.