100.2 Galaxy FM ewutudde ttiimu y’abatuuze b’e Mukono eya Mukono Select mu mupiira gw’ebigere.
Omupiira gwasambiddwa olunnaku olw’eggulo ku kisaawe ky’essomero lya St Johns SS – Namuyenje.

Ddifiri yagenze okufuuwa eddenge evvannyuma, nga 100.2 Galaxy FM ewangudde omupiira ggoolo 3 – 1.
Omupiira gwo, Mr Mosh yasubiddwa peneti mu kitundu ekisooka mu ddaakika ya 40.

100.2 Galaxy FM ewangudde emipiira 6 egy’omudiringanwa, eteebye ggoolo 10, bagiteebyemu ggoolo sattu (3).
