Wadde abantu bangi mu ggwanga lino bakyebuuza ekyaviriddeko eryato okutta abantu ku nnyanja Nalubaale ku Lwomukaaga, wuuno omusajja avuddeyo okulumiriza Poliisi okwenyigira mu mbeera eyo.

Poliisi enokoddeyo abamu ku bafudde omuli

  1. Musumba Yoweri-dream plaza and dream hotel, Kampala
  2. Templar Bisase -the Proprietor of K Palm Beach and owner of the boat
  3. Sheila Bisase the wife to Templar
  4. Sheila Bonimpa
  5. Sheila Nzamukunda
  6. Esther Arinda
  7. Isaac Kayondo
  8. Nyanzi John
  9. Musisi Micheal
  10. Owecho Bosco -the first person to respond to the accident
  11. Asala Bilditon
  12. Ndeyu Arnold
  13. Wamala Derrick
  14. Ndoli Brian
  15. Kaddu Micheal
  16. Kawuki Tony
  17. Muyenga Moses -the Director Lights Events
  18. Namala Ritah
  19. Mawanda Fred
  20. Ssemakula Paul
  21. Chuck Brian Salvador also known as The Last King n’abalala.

Wabula Amos Kasekende omu ku batuuze b’e Ggaba agamba nti Poliisi yasukkiridde obulagajjavu okuleka abantu okutambulira mu lyato ekadde.

Mungeri y’emu agambye nti Poliisi esukkiridde okweyambisa amaannyi agasukkiridde ku bavubi kyokka yalemeddwa okulemesa abantu okulinya eryato, ekyaviriddeko abantu okufa.

Kasekende agamba nti Poliisi yeerina okunenyezebwa n’okubonereza abamu ku basirikale abalemeddwa okukola omulimu gwabwe, okutangira abantu okulinya eryato.