Ssentebbe wa kkooti y’amaggye Lt Gen Andrew Gutti ayongezaayo omusango oguvunaanibwa eyali ssentebe wa Bodaboda 2010, Abdallah Kitatta okutuusa nga 10, December, 2018.

Lt Gen Gutti okwongezaayo, kidiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Maj. Rapheal Mugisha okusaba kkooti aweebwe olunnaku ayanukule ku nsonga Kitatta ze yeemulugunyaako.

Kitatta ng’ayita mu puliida we Shaban Sanywa, yategezezza kkooti nti obujjulizi bwonna bupangirire ne yewuunya okulaba nga baleeta bajaasi bokka okumulumiriza ekiraga nti beekobaana.

Sanywa agamba nti abajjulizi bonna abaleetebwa temuli yakola kunoonyereza mu musango kukakasa kkooti nti ddala Kitatta yasangibwa n’emmundu n’ebyambalo by’amaggye.

Wabula Maj. Mugisha yawereddwa nga 10, December, 2018, okwanukula ku nsonga ezo.

Puliida Shaban bamuganye okuddamu okwogera ku nsonga yonna eri bannamawulire kuba ensonga zitekeddwa kusigala mu kkooti.