Obwa Kabaka bwa Buganda bufulumizza ekiwandiiko ekikambwe ku bafiiridde mu nnyanja Nnalubaale emanyikiddwa nga Lake Victoria ku Lwomukaaga ekiro.
Mu Kiwandiiko, basasidde nnyo abantu abafiriddwako abantu babwe n’okugumya abasimatuuse.
Mungeri y’emu basabye Gavumenti okusala amagezi okulaba nti obubenje ku nnyanja n’emigga mu Uganda bwewalibwa omuli okubiriza abantu okwambala Life Jackets.
