Abasawo abakyatendekebwa abegatira mu kibiina ekya Federation of Uganda Medical Interns (FUMI) batadde wansi ebikola nga kivudde ku mbeera embi gye bakoleramu.

Abasawo banno, abakyayiga nga bakulembeddwamu Dr Mirembe Joel, bagamba nti mu ddwaaliro temuli ddagala ekivirako abalwadde okufiira mu mikono gyabwe.

Dr Mirembe agamba nti bagala nnyo mirimu gyabwe kyokka Gavumenti esukkiridde okuteekawo embeera okubalemesa kuba mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, abalwadde beyongera buli lunnaku wabula tebasangayo ddagala.

Mungeri y’emu agambye nti wadde bagala nnyo okukola emirimu, tebayinza kukola mulimu gwonna nga tebalina  bikozesebwa mu ddwaaliro.

Ensonga endala, gye balopedde bannamawulire ku ddwaaliro ekkulu e Mulago bagambye nti Gavumenti yabasuubiza omusaala buli mwezi kyokka bakulungudde emyezi ebbiri (2) nga tebafuna wadde 100.

Abasawo bagamba nti bapangisa, okutambula, okulya, okufuna ebyokwambala, byonna byetaaga ssente zebatalina, ekizibuwaza obulamu.