Gavumenti erangiridde ku lw’okutaano lwa ssabiiti eno nga 30, November, 2018, eggwanga lwerigenda okukungubagira mu butongole abantu abaafiridde mu kabenje k’eryato ku nyanja Nnalubaale sabiti ewedde ku Lwomukaaga ekiro.

Dr. Ruhakana Rugunda
Dr. Ruhakana Rugunda

Wabula okusinziira ku ssaabaminisita wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda, olunnaku wadde lwa kungubaga ssi lwa kuwummula mu ggwanga, abantu balina okukola emirimu gyabwe.

Ye Minisita avunaanyizibwa ku by’entambula mu ggwanga lino Uganda, Monica Azuba Ntege, akabenja kavudde ku badigize abaajeemera ebiragiro bya poliisi nga tebanaba kusimbula okulinya eryato.

Mu kabenje, abantu abasukka 30 bafudde ate ebitongole ebikuuma ddembe bikyanonya ebirambo gy’abantu abalala ku nnyanja Nnalubaale.