Omukazi agambibwa okukakana ku mwanawe namusalamu ebyenda n’ebitundu ebyekyama asimbiddwa mu kkooti , era nasindikibwa ku mmeere e Luzira.
Harriet Nakalema aguddwako emisango ebbiri omuli okutta n’okwenyiga mu bikolwa ebyokukusa abaana oba ebitundu byabwe.
Bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Beatrice Kainza owa City Hall mu Kampala, Nakalema asindikiddwa ku limanda okutuusa nga 11, December, 2018 nga kivudde ku ludda oluwaabi, nga lukulembeddwamu Joy Kalungi okutegeeza omulamuzi nti bakyanoonyereza.
Kigambibwa nga 29, October, 2018, Nakalema ng’asinzira ku kyalo Balintuma, Kiwatule Kiira ne mukwano gwe Viviian Nalunga bekobaana okutta omwana.
Omwana eyali akunukiriza emyaka ebbiri (2) yasalibwa mu bitundu byekyama ne bamusokoola ebyenda byonna.
Nakalema yakwata omwana we eyali amaze okufa, okumutwala mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okuwudiisa abasawo nti omwana ali mu mbeera embi kyokka abasawo bamugwamu kuba omwana yali talina byenda ne batemya ku Poliisi nakwatibwa wadde omusango agwegaana.