Ssemaka Jackson Bulenzi myaka 44  asindikiddwa mu nkomyo emyaka 45 lwa kusobya ku mwana.

Bulenzi asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Winifred Nabisinde.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ivan Nkasibwe, Bulenzi nga 26,  September, 2015 ku kyalo Lwenkakala mu ggoombolola y’e Lwengo mu disitulikiti y’e Lwengo yasobya ku bbujje, abazadde nga bageenze mu nnimiro obudde obw’okumakya.

Ssemaka Bulenzi akiriza omusango era naasaba omulamuzi Nabisinde ekibonerezo ekisamusaamu kuba alina obulwadde.

Wabula omulamuzi Nabisinde asabiddwa okuwa Bulenzi ekibonerezo ekimugwanidde okuba eky’okulabirako ku basajja abeegumbulidde okusobya ku baana abato n’abaliko obulemu.

Omulamuzi Nabisinde akiriziganyiza n’oludda oluwaabi kuba abantu nga Bulenzi abatyoboola eddembe ly’abaana abato tebagwanidde kusigala mu bantu.

Omulamuzi Nabisinde era agambye nti okukaliga Bulenzi emyaka 45 kikoleddwa okusobola okumuggya mu bantu n’okwekuba mu mutima ku kikolobero kye yakola.