Poliisi y’e Mukono ekutte Paasita Simon Mpinga amanyikiddwa nga Pastor Ronnie myaka 31 owa Living Gospel Church mu kibuga Mukono ku by’okusiyaga omulenzi myaka 16.
Okusinzira ku Poliisi, omulenzi yatukiridde Paasita Mpinga ng’alina obuzibu nga yetaaga shs 20,000.
Paasita Mpinga yamusuubiza ssente ezo, namulagira okuzikima mu makaage.
Omulenzi agamba nti yatuuse ewa Paasita obudde nga buwungedde ate Paasita Mpinga yatuuse ekiro, namwaniriza ng’ali ne mikwano gye era namuwa eby’okunywa omuli omwenge, omulenzi nabigaana.

Omulenzi agamba nti Paasita yamusabye okusula kuba obudde bw’abadde bugenze nga buzibye nnyo.
Mu kiro, Paasita yakwatiridde omulenzi, kwekutandiika okumunywegera era yamusuubiza okumutta oba okumutusaako obulabe singa akuba enduulu oba okugyema okumusiyaga.
Omulenzi agamba nti Paasita yakutte ebizigo namusiiga emabega kwekuyita mikwano gye okumukwata vidiyo nga bwamusiyaga, okumala essaawa ebbiri (2).
Enkeera, Paasita yagenze mu Bbanka era yawadde omulenzi shs 10,000 wadde yabadde amusabye shs 20,000.

Omulenzi, yasobodde okutegeeza abazadde, abadukidde ku Poliisi era omulenzi abasawo basobodde okumwekebejja nga yenna alina amabwa e mabega.
Paasita yakwatiddwa era mu kiseera kino, ali mu kaduukulu ka Poliisi e Mukono ku misango gy’okulya ebisiyaga.
Poliisi egamba nti Paasita Mpinga alina omusango gw’okulya ebisiyaga mu 2016 era babadde bakyanonyereza.