Poliisi y’e Kira mu Kampala ekutte abasirikale babiri (2) mu kitongole ky’obwananyini ekikuumi lwa kugyemera kiragiro ky’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ne batambula mu Kampala nga bambadde jaketi eziriko ebikofiira ezibika emitwe gyabwe.
Abakwatiddwa kuliko Elias Elibu ne Charles Emeru okuva mu kitongole ekya Tactical Security Services ku luguudo lwa Mutesa 11 e Ntinda.
Adduumira Poliisi ku Poliisi y’e Kira SP. Michael Kasigire, yakulembeddemu okubakwata era basangiddwa n’emmundu bbiri (2).

Okusinzira ku Poliisi, batuuze ku luguudo lwe Bukoto, bekengedde abasirikale abo, ababadde ku pikipiki namba UEU 497T, abasobodde okubatemyako ne bakwatibwa.
Afande Kasigire agamba nti omukulembeze w’eggwanga Museveni yalagira ebitongole ebikuuma ddembe okukwata abantu bonna, abanasangibwa nga bambadde jaketi eziriko ebikofiira okubikka emitwe gyabwe okusobola okunyweza ebyokwerinda n’okutangira abatemu okweyambisa enkola eyo, okutta abantu nga bakwese ffeesi zaabwe.