Omugagga Bryan White asuubiza okuyamba famire y’omugenzi Bosco Owecho, eyafa akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga mu kabenje k’eryato ku nnyanja Nnalubaale.

Owecho y’omu ku batuuze ate nga Muvubi okumpi ne Mutima Beach mu disitulikiti y’e Mukono, yaffa bwe yali agezaako, okutakiriza abadigize abagwa mu nnyanja.

Okusinzira ku Bryan White, omugenzi Owecho abadde alina famire y’abantu bataano (5) balabirira omuli abaana basatu (3) omukyala ne nnyazala we.

Agamba nti okufa, famire yasigadde mu kaseera akazibu nga betaaga okuyambibwa.

Mungeri y’emu asuubiza nti ekibiina kye, ekya Bryan White Foundation, kigenda kuyambako, okufunira Famire omulimu gwe bayinza okuggyamu ensimbi, okwebezaawo okutambuza amaka n’okusomesa abaana.