Wadde bangi ku bannayuganda bogedde ebigambo ebisomooza omukwano gwa Rema Namakula ne bba Eddy Kenzo, laavu yabwe eremeddewo.

Bangi ku bawagizi ba Kenzo bamusabye emirundi mingi okutongoza obufumbo bwe n’omukyala Rema kyokka ensonga ezikutte kasoobo nnyo.

Abantu bangi balumbaganye Kenzo nti asukkiridde obwenzi era mbu alina abawala abenjawulo bakuba amatooke omuli omuyimbi Pia Pounds, Lydia Jazmine n’abalala.

Sabiti ewedde, Kenzo yategeza bannamawulire nti abantu balemeddeko okumusuula mu kisaawe ky’okuyimba nga beyambisa famire ye era balina obutakwatagana n’omukyala.

Rema ne Kenzo
Rema ne Kenzo

Kigambibwa obutakaanya mu laavu yabwe, era y’emu ku nsonga lwaki Rema yafulumiza oluyimba ‘Siri Muyembe’ okutegeza bba embeera gyayitamu.

Wadde bingi byogeddwa wakati wa Rema ne Kenzo, basobodde okwasaganya embeera.

Ekiriwo, kiraga nti Rema asonyiye Kenzo okuddamu okweyagala obulungi n’okuwa omukisa Kenzo okutekateeka ekivvulu kye nga 4, Janwali, 2019 okujjaguza emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba.

Rema asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okutegeeza nti buli muntu yenna asanidde okusanyukira olunnaku olulala n’okusiima abantu bonna abasobodde okubererawo mu buli mbeera yonna, “Be grateful for each new day and appreciate those that ride along with you in every situation“.

Ebigambo ebyo, kigambibwa abadde asiima bba Kenzo kuba asobodde okuberawo mu bulamu bwe mu mbeera ezenjawulo.