Poliisi mu Kampala ekutte omusajja ku by’okwonoona Kamera, ezitekebwa ku nguudo okulwanyisa ebikolobero.

Omusajja akwatiddwa, musirikale mu kitongole ky’obwananyini ekikuumi ekya SENACA company era mu kiseera, ateekeddwa mu kaduukulu ka Poliisi ku Kira Road.

Okusinzira ku Poliisi, kamera zitekeddwa okulondoola, ebitundu bya Kampala ebyenjawulo omuli Lungujja, Kampala mukadde, Rubaga, Naalya, Bulenga, Kawaala, Kabowa, Nateete, Mutundwe n’ebitundu ebiriranyeewo okutangira abatemu, abegumbulidde okweyambisa bodaboda ne mmotoka okutta abantu.

Mungeri y’emu, Poliisi atekeddwa okuzeyambisa kamera ezo okulondoola abanyakula amassimu, ensawo z’abakyala, okubba emmotoka, bodaboda n’okwekeneenya entambula y’ebiduuka.

Poliisi egamba nti omusajja akwatiddwa agenda kubategeeza ani eyamusindise, lwaki yenyigidde mu kwonoona kamera eziteekeddwa ku nguudo n’ekigendererwa kye.