Omuyimbi omumerika Elgin Baylor Lumpkin amanyikiddwa nga Ginuwine atuuse mu Uganda okulemberamu ekivvulu kya Annual Jazz Safari ku Speke Resort Munyonyo ku Lwomukaaga nga 1, December, 2018.
Ku kisaawe Entebbe, Ginuwine ayaniriziddwa omu ku Banakatemba abasinga omutindo mu Uganda Alex Muhangi owa Comedy Store era nannyini kutandikawo Masters studio e Ntinda.

Kigambibwa Ginuwine ne Muhangi balina pulojekiti gye baliko eri mu bukadde bwa ssente.
Muhangi asobodde okweyambisa ‘Masters studio’ mu pulojekiti z’abayimbi abalala abanene mu nsi yonna omuli Tarrus Riley, Konshens n’abalala era okukyaza Ginuwine tekyewunyisa.