Ssemaka Fred Rigyema omutuuze we Buzindere mu disitulikiti y’e Mukono alabudde ku kyavuddeko akabenje k’eryato ku nnyanja Nnalubaale ku lunnaku Olwomukaaga, akavuddeko abantu 33 okufa.

David Kintu Wasajja
David Kintu Wasajja

Rigyema musawo wa kinnansi agamba nti bangi ku badigize abaali ku lyato, gwali mulundi gwabwe gusooka ate kwaliko omwana w’Engoma Omulangira David Kintu Wasajja nga baalina okusooka okubaako emikolo gy’obuwangwa gye bakola, ekintu ekitakolebwa.

Mungeri y’emu agambye nti abatambulira ku mazzi nga bagenda okulya obulamu, ennyanja bateekeddwa okugigabula ebintu ebyenjawulo omuli emwanyi, embuzzi, enkoko n’ebintu ebirala.

Rigyema agamba nti ennyanja erina emisambwa egikulemberwa Mukasa n’emirala omuli Kiwanuka ne Mayanja era abantu baali bateekeddwa okugigabula.