Mu Uganda, sheebah Kalungi y’omu ku bayimbi abakyala abasinga okukyamula abantu mu ngeri ezenjawulo ku siteegi omuli ennyimba ye, amaanyi gakozesa n’enyambala.

Ku Lwokutaano nga 30, November, 2018, yabadde ku Africana Hotel mu Kampala mu konsati y’oluyimba Omwooyo era abantu babadde bangi ddala.

Sheebah yasobodde okwambala obugoye obwenjawulo okukyamula abawagizi be era bangi banyumiddwa nnyo wadde abamu bagambye nti asukkiridde okunama.
Abamu ku basajja waaya zekyangidde mu mpaale kuba omwana yayambadde obugoye obusikiriza abaami.

Ku nsonga eyo, tekimanyiddwa oba minisita akwasisa empisa, Simon Lokodo anasigala kye kimu ku muyimbi Sheebah.

Kinnajjukirwa nti mu Uganda, Sheebah Kalungi y’omu ku bayimbi abatunuliddwa nnyo akakiiko ka Minisita Lokodo akalwanyisa obuseegu mu ggwanga.

Abamu ku badigize bagamba nti ennyambala ya Sheebah eringa esomooza Minisita Lokodo n’okumulaga nti mu Uganda amateeka agamu tegakola.