Zari Hassan y’omu ku bakyala abalemedde ku mulembe wadde mu kiseera kino talina musajja mutuufu amanyikiddwa.
Mu Uganda, Zari yawebwa obwa Ambasadda w’ebyobulambuzi era asobodde okulambula ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo ne minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi Godfrey Kiwanda Ssuubi.

Wadde talina musajja amanyiddwa, yekolako nnyo okusobola okusigala ku mutindo n’okusikiriza abasajja abalala mu nsi ezenjawulo n’okusingira ddala mu Africa.

Omubiri gwa Zari, tewali kubusabuusa alina ebifo by’okwasaako omusajja n’omwogeza ‘Oludica era y’emu ku nsonga lwaki abasajja bayaayana okumwagala.