Omubaka we Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ne banne 37 enkya ya leero baddayo okweyanjula mu kkooti ento e Gulu ku misango egibavunaanibwa egy’okulya mu nsi olukwe.
Olunnaku olwaleero, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Julius Ochen lugenda kutegeeza omulamuzi we batuuse mu kunoonyereza ku musango gwo.
Bobi Wine avunaanibwa ne banne omuli omubaka w’ekibuga Arua, Kassiano Wadri, Jinja East, Paul Mwiru, Gerald Karuhanga owa Ntungamo, Michael Mabike eyali owa Makindye East.

Abalala kuliko kuliko Faruk Abdurahamad, John Ssebuufu, Tom Asiku, Odonga Rasul, Tamale Wlberforce, William Nyanzi Musisi, Tom Drayi, Tom Wani, Juma Amidu, Shabni Atiku, Gmba Tumusiime, Isamil Kasule, Nelson Mandela, Simon Obeti, Stephen Ojotre, Habib Osega, Mohamad Ijala, Charles Hamiku, Benald Andama, Doka Andama Anywar, John Bosco Odongo, Noor Mansur Tutelezi, Basir Ijotre, Amidu Galumbe, Maida Alara, Eddy Mutwe ne Caroline Nalubowa.
Kigambibwa benyigira mu kukola efujjo nga 13, August, 2018 mu kibuga Arua bwe baali banoonya akalulu k’omubaka Kassiano Wadri kyavirako emu ku mmotoka y’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okukubwa amayinja endabirwamu neyiika.
Bobi Wine ne banne balina bannamateeka abenjawulo nga bakulembeddwamu Asuman Basalirwa, Medard Lubega Sseggona n’abalala.