Omukwano wakati wa Rema Namakula ne bba Eddy Kenzo kirabika guzzemu okutinta.

Kigambibwa Rema ne Kenzo basisinkanye ku Posh Crib, e Seguku ku luguudo lwe Ntebbe ne mikwano gyabwe ku  wikendi okutebenkeza amaka gabwe.

Amawulire gabadde gayitingana nti laavu ya Rema ne Kenzo erimu ebituli era y’emu ku nsonga lwaki Rema yafulumya oluyimba ‘Siri Muyembe’ okutegeeza bba Kenzo embeera gy’alimu kuba yali akooye abasajja okumukwana buli lunnaku.

Bwe kiba nga Rema ne Kenzo batudde okugonjola ensonga, amagoba gatandiise okweyoleka.

Rema asobodde okweyambisa omutimbagano gwa ‘Face Book’ okutekayo obugambo ‘Hey my beautiful pple…we have along weekend ahead of us’.

Obugambo bwo, kabonero akalaga nti omukwano wakati wa Kenzo ne Rema guzzeemu era mu kiseera kino balina essannyu mu bufumbo bwabwe, kwekusalawo okutegeeza ku bawagizi bwabwe.

Kigambibwa Rema okutegeza abantu ku bigenda okukolebwa mu sabiti, kiraga nti talina buzibu bwona era abamu ku bawagizi be agambye nti Kenzo yamatiza Rema nti byonna by’alina bibye (all belongs to You), ekyawadde Rema esuubi.
Ekigambo kya Kenzo, kyawadde Rema amannyi okukomya okweralikirira abakyala abalala omuli Lydia Jazmine ne Pia Pounds ababadde bogerwako nti baganzi ba Kenzo.