Ssaabawaabi wa Gavumenti (DPP) ayingidde mu nsonga z’okutta eyali omuduumizi wa poliisi y’e Buyende ASP Muhammed Kirumira.

ASP Kirumira yattibwa n’omuwala Esther Mbabazi Naalinya nga September 8, 2018 e Bulenga ku lw’e Mityana nga bonna baakubwa amasasi agabattirawo.

Amelia Mukamushaba
Amelia Mukamushaba

Olunnaku olw’eggulo ku Mmande omuwaabi wa Gavumenti Amelia Mukamushaba yategezeza omulamuzi wa Kkooti ento e Wakiso, Martin Kirya nti fayiro y’omusango gwa Abubaker Kalungi myaka 47 yasindikiddwa eri Ssaabawaabi wa Gavumenti (DPP) okugyetegereza.

Tewali nsonga yonna yawereddwa lwaki fayiro y’omusango yayitiddwa kyokka kiteberezebwa nti erimu  ebirumira bingi ddala.

Abubaker Kalungi
Abubaker Kalungi

Kigambibwa Kalungi ne banne abakyanonyezebwa bekobaana okutta ASP Kirumira kyokka oludda oluwaabi lukyanoonyereza okufuna obujjulizi.

Mu kkooti ento e Wakiso, Omulamuzi Kirya yayongezaayo omusango gwo okutuusa nga December 12, 2018.

Omugenzi Kirumira yakyaka nnyo ku mulembe gwa Gen Edward Kalekezi Kayihura Muhwezi amanyikiddwa nga Gen Kale Kayihura kyokka yalumiriza nnyo bakaama be okulemberamu okuteeka kawukumi mu kitongole ekya Poliisi.
Kinajjukirwa nti omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yakola enkyukakyuka mu kitongole ekya Poliisi nga 4 March 2018 mwe yagobera Gen Kale Kayihura namusikiza Martin Okoth Ochola era Kirumira y’omu ku bannayuganda abasiinga okusanyuka wadde yali musirikale.