Omuyimbi Fik Fameica alangiridde abayimbi bataano (5) abasinze okuyimba mu 2018 n’okututumula ekisaawe ky’okuyimba.
Fik bw’abadde ku 100.2 Galaxy FM mu Pulogulamu Morning Saga, agambye nti abayimbi bangi nnyo basobodde okuyimba ennyimba enungi kyokka 2018 abamu tebakoze bulungi.
Abayimbi 5 kuliko Fik Fameica, King Saha, Spice Diana, Sheebah, B2C, Eddy Kenzo ne Gravity Omutujju kyokka Bebe Cool taliko.
Fik Fameica nga 14, December, 2018 alina konsati e Kyadondo Rugby Grounds era mu kiseera kino ali mu kweteekateeka.