Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayogedde amazima nti obuli bw’enguzi obuli mu ggwanga lino buwunya n’okuwunya.

Museveni agamba nti Gavumenti esobodde okutekawo amateeka okulwanyisa obuli bw’enguzi kyokka abakozi mu bitongole bya Gavumenti basukkiridde obuluvu bwa ssente ate nga bafuna omusaala omulungi ddala.

Bw’abadde mu kibuga Kampala mu lukungana olutegekeddwa aba Transparency International Uganda, okubaganya ebirowoozo ku nsonga y’okulwanyisa obuli bw’enguzi, Museveni anokoddeyo ebitongole ebisinga okubaamu abakozi abalya enguzi omuli ekiteekateeka ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) ekikulemberwa Jennifer Musisi Ssemakula, Bank of Uganda ekulemberwa Emmanuel Tumusiime-Mutebile, ekisolooza omusolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) ekikulemberwa Doris Akol n’abalala.

Agamba nti obuli bw’enguzi bulemeseza Gavumenti okuzimba amalwaliro, enguudo, amassomero era akowoodde abantu bonna okuvaayo okubulwanyisa.