Poliisi efulumizza alipoota ku lyato lya MV Templar eryatta abantu sabiti ewedde ku Lwomukaaga nga 24, November, 2018 ku nnyanja Nnalubaale emanyikiddwa nga Lake Victoria.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, bazuula emirambo 32 ne banunula abantu 35 kyokka abantu 5 tebamanyiddwa gye bali.

Ate ebintu ebyazuulibwa mu nnyanja mulimu amassimu, Densite z’eggwanga (National IDS), Fuel cards, shopping cards, driving permits ne ATM.

Kayima mu kwogerako eri bannamawulire
Kayima mu kwogerako eri bannamawulire

Ku Densite z’eggwanga kuliko Stella Byabashaija Ntanda (Bag shopping cards, driving permit, National ID ne Fuel Card), Nantege Yudaya (Bag ne National ID), Doreen Arinaitwe (Bag ne National ID), Samalie Nakakazi (Bag, Driving Permit ne National ID, ULS Card), Stella Nabasa (Bag ne Driving permit) ne Namayanja (Bag ne Driving permit).

Abalala kuliko Lindah Nankungu (Bag, Driving permit), Mariam Nakigudde (Bag ne Bank ATM Card), Irene Alitubeera (Bag ne National ID), Zahura Paul Apuuli (National ID), Barbra Kabagambe(Driving pemit) ne  Martha Kawalya (Bag, Driving permit ne National ID).

Mungeri y’emu Poliisi egamba nti mu nnyanja bazuulayo ensawo z’omu ngalo 27, entebe 9, genereta emu (1), omuzindaalo gumu (1), amasiimu 7, Densite z’eggwanga 12,  engato z’abasajja z’abantu 4, engato z’abakyala z’abantu 3, engoye, ssente emitwala shs 50.

Kayima agamba nti ku ssente emitwalo 50, ezimu zitwaliddwa bananyinizo.