Kyaddaki omuyimbi Diamond Platnumz alangiridde okutongoza laavu ye n’omukyala Tanasha Oketch Donna myaka 22 omukozi ku laadiyo ‘star’ mu ggwanga erya Kenya ku lunnaku lwa baagalana (Valentine’s Day) nga 14, February, 2019.

Kinnajjukirwa nti mu 2017 ku lunnaku lwa baagalana, Zari Hassan yalangirira nga bwe yali ayawukanye ne bba Diamond mu butongole kuba yali akooye ejjogo ly’omusajja okwagala buli muwala.

 Diamond Platnumz ne Tanasha Oketch Donna

Diamond Platnumz ne Tanasha Oketch Donna

Kigambibwa nti ne Diamond ayagala kutongoza obufumbo bwabwe ku lunnaku lwa baagalana 2019 okusobola okwesasuza Zari.

Diamond bwe yabadde ku Wasafi TV, yagambye nti atandiseewo ebintu ebyenjawulo omuli TV, Laadiyo, situdiyo ezenjawulo ne Kampuni, nga yetaaga omukyala okumuyambako mu kutambuza emirimu.

Zari
Zari

Mungeri y’emu yagambye nti mu bulamu bwe, ayagadde abakyala abenjewulo kyokka Tanasha Oketch Donna asinga abakyala bonna beyali ayagaddeko.