Omuyimbi Rema Namakula ayogedde amazima lwaki ebigambo by’abantu tebiyinza kumulemesa kukola mirimu gye.
Rema y’omu ku bayimbi abakyala abasinga okunyirira ekyasinga okusikiriza Eddy Kenzo okumusaba bakole ebya maama ne taata okufuna omwana n’okugumiza laavu yabwe.
Bangi ku bannayuganda bebuuza ebinyiriza Rema wabula asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okutegeza nti ennaku zinno yemalire mu kunywa mazzi, okwenyiriza n’okutambuza emirimu gye.
Ku Face Book agambye nti “All im doing currently is drink enough water, moisturise and Mind my own bzness”
Ebigambo ebyo, bangi ku bawagizi ba Rema bagambye nti kabonero akalaga nti Kenzo takyali mu birowoozo bya Rema era y’emu ku nsonga lwaki mu by’akola olunnaku talimu.
Wabula abamu ku bantu bamutabukidde ku nsonga ezo era abamu bagamba nti Rema alina olubuto wakati w’emyezi 4 kwe 5



