Omulenzi myaka 12 eyabuzibwawo ku Ssande mu disitulikiti y’e Mukono azuuliddwa nga yattiddwa era  omulambo gwe ne gusulibwa mu nsiko ku kyalo Ngombere mu ggoombolola y’e Mpungwe.

Shafik Kimera abadde mu P4 ku Ngobere Primary School yabula sabiti ewedde bwe yali azannya ne mikwano gye.

Kigambibwa, abawaamba Kimera basabye abazadde ssente obukadde 2 nga tebazirina oluvannyuma ne bamutta.

Sylvia Namiro omu ku beng’anda z’omugenzi agambye nti bafunye essimu era basabiddwa emitwalo 50 okubalagirira omulambo gwa Kimera.

Ku nsonga eyo, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigyire agambye nti bakutte abantu 3 ku ttemu eryakoleddwa era okwatibwa, basobodde okulondoola essimu, abatemu gye bakozeseza okukubira abazadde b’omugenzi Kimera okusaba ssente.

Abakwatiddwa kuliko Livingstone Kiwanuka 19, Swaib Zinda 40 ne Abdallah Ssengendo 26 ku misango gy’okuwamba n’okutta omuntu.