Poliisi y’e Kyegegwa ekutte omukyala n’abaana babiri (2) ku by’okutta kitaabwe Deo Muzungu abadde omutuuze ku kyalo Kakabara.

Omulambo gwa Muzungu gwasangiddwa okumpi n’amakaage, nga gusuliddwa mu nsiko nga gwona gujjudde ebiwundu omubiri gwonna.

Poliisi ng’ekulembeddwamu adduumira abasirikale mu kitundu ekyo Musa Kayondo, basobodde okweyambisa embwa okunoonyereza abenyigidde mu ttemu era embwa yasibidde mu maka g’omugenzi mu kisenge ky’omwana omulenze era wasangiddwayo omusaayi.

Nanwandu Stidia Turyahebwa yakwatiddwa n’abaana babiri (2) okuli omulenzi Alex Asaba n’omuwala Sharon Happy era mu kiseera kino bakuumibwa ku poliisi y’e Kyegegwa ku misango gy’obutemu.

DPC Kayondo agamba nti bonna bakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe amangu ddala nga bakomekerezza okunoonyereza.

Bbo abatuuze bagamba nti omusajja okufuna omukyala omulala ategeera ensonga z’omukwano, y’emu ku nsonga lwaki maama yekobaanye n’abaana okumutta.