Poliisi y’e Rukungiri etandiise okunoonyereza engeri omugagga Godi Ainobushobozi myaka 38 gye yattiddwamu.

Ainobushobozi abadde musuubuzi ku kyalo Buhunga mu disitulikiti y’e Rukungiri.

Omugenzi Ainobushobozi yabadde ku bodaboda ng’ava ku Thunderous Club mu kibuga kye Rukungiri ku bodaboda, abatemu basatu (3) kwe kumukuba amasasi ku kyalo Kyemengo, Buhunga agamutiddewo kyokka owa bodaboda ategerekeseeko erya Sadam yasimatuuse naduuka emisinde.

Elly Maate
Elly Maate

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, Poliisi yasobodde okwekebejja ekifo era bazuudde amassimu 2.

Mungeri y’emu agambye nti owa bodaboda Jude Mugumya amanyikiddwa nga Junior myaka 20 nga mutuuze ku kyalo Nyamiyaga cell mu ggoombolola y’e Buhunga akwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Omulwambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro lya Rwakabengo health centre III okwekebejjebwa.

Omugagga Godi Ainobushobozi agenze okufa ng’eggwanga likyali mu kiyongobero ky’okufirwa omugagga Charles Muhangi eyaziikiddwa olunnaku olw’eggulo e Bushenyi.