Poliisi y’e Kasese ekutte ssemaka myaka 25 ku by’okutta omwana omuwala myaka 2 egy’obukulu.

Nixon Muhindo Rujumba omutuuze ku kyalo Kyamuduma mu ggoombolola y’e Mahango yakwatiddwa ku by’okutta omwana muggya na nnyina Pretty Musoki ng’amulanga, okufuka mu nnyumba.

Kigambibwa ssemaka yakomyewo awaka ng’abaana bazannya nabayita mu nnyumba kyokka Musoki yatidde nnyo, omusulo ne gumuyitamu buyisi.

Taata yakubye omwana Musoki emiggo era nnyina w’omwana eyabadde egenze mu nimiro yagenze okudda, ng’omwana azirise.

Omwana yafudde nga basimbudde awaka okumutwala mu ddwaaliro okufuna obujanjabi.

Poliisi yayitiddwa abatuuze, ssemaka Muhindo nakwatibwa ku misango gy’okutta omuntu.