Ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama asabye Palamenti okwanguyiriza enkyukakyuka z’ebyokulonda, basobole okutambuza emirimu gyabwe awatali kutataganyizibwa.
Byabakama agamba nti enkyukakyuka okulwawo, kizibuwaza omulimu gwabwe ate nga betaaga obudde okusomesa bannansi ku by’okulonda, okutendeka abalondesa n’okutegeera amateeka g’ebyokulonda.
Okubyogera, abadde kwa Africana mu Kampala mu kutongoza entekateeka yonna, gye bagenda ogoberera mu kulonda kwa 2021 era anokoddeyo ebisinga okubanyigiriza mu kutambuza emirimu gyabwe omuli amateeka g’ebyokulonda okulwawo okuyisibwa, obutasomesa bulungi balonzi n’abalondesa nga kivudde ku nsimbi obutamala.

Byabakama anokoddeyo ensonga 6 zebatekeddwa okutukiriza mu kulonda kwa 2021 omuli akalulu ak’amazima n’obwenkanya, akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde, okutereeza obulungi enkalala z’abalonzi, okusomesa abalonzi n’okubategeeza byonna, ebigenda maaso mu kiseera ky’okulonda.
Okulonda kusuubirwa okuwementa obuwumbi 868 okuva ku 500 obwakozesebwa mu kulonda kwa 2016.
Ate ssaabawandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda Sam Rwakojo agambye nti mu 2021, basuubira abalonzi obukadde 19, okuva ku bukadde 15 obwalonda mu 2016.
Okusinzira ku ntekateeka, okuwandiisa abagala okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga lino, kwakolebwa mu sabiti ey’okusatu, omwezi ogwa August, 2020.

Mu kutoongoza Kampeyini eyo, Gavumenti ekikiriddwa Ssaabaminisira Dr Ruhankana Rugunda era asuubiza nti Gavumenti netegefu okuwagira akakiiko k’ebyokulonda, okutekateeka akalulu ak’amazima n’obwenkanya n’okutwala mu Palamenti enkyukakyuka ezikwata ku by’okulonda.