Kyaddaki omubaka wa Munisipaali y’e Mukono Betty Nambooze Bakireke yeyanjudde eri omulamuzi wa kkooti y’e Nakawa mu maaso g’omulamuzi Noah Ssajjabi ku misango gy’okukuma mu bantu omuliro.
Omulamuzi yafulumya ekibaluwa mu September wa 2018 okulagira Nambooze okweyanjula mu kkooti kyatakola, omwezi oguwedde ogwa November nafulumya ekiwandiiko eky’okubiri okulagira Nambooze nti olunnaku olwaleero ateekeddwa okweyanjula mu kkooti.
Nambooze abadde mu kagaali k’abalema okutambula, asobodde okweyanjula mu kkooti kyokka ategeezeddwa nti munnamateeka w’oludda oluwaabi Racheal Nabwire taliwo.
Embeera eyo, ewaliriza munnamateeka wa Nambooze Samuel Muyizzi Mulindwa okusaba kkooti omusango, gugobwe kuba Gavumenti eremereddwa okusindiika omuntu wabwe mu kkooti era kabonero akalaga nti tebalina bujjulizi.
Wabula omulamuzi Ssajjabi agaanye bwategezeza nti, omuwaabi wa Gavumenti Nabwire yeyanjudde mu kkooti emirundu egyenjawulo nga Nambooze talabikako nga sikyabwenkanya Nambooze okusaba omusango gugobwe olunnaku olwaleero.
Omulamuzi ayongezaayo omusango gwo, okutuusa nga 7, March, 2019, okuwa Gavumenti obudde okuleeta obujjulizi.
Nambooze avunaanibwa okukozesa obubi facebook bwe yawandiika ebigambo ku kufa Ibrahim Abiriga eyali omubaka wa Arua abakulu bye bagamba nti byali bya bukyayi.