Kkooti enkulu mu Kampala esingisiza Geoffrey Ssengendo myaka 37 omusango gw’okusobya ku mukadde myaka 70.

Omulamuzi Jane Francis Abodo agamba nti ssengendo, yamenya ennyumba ya nnamukadde  nga 24, November, 2015 ku kyalo Jagala mu ggoombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso namusobyako.

Omulamuzi agamba nti obujjulizi bwona bulaze nti ssengendo yasobya ku nnamukadde nga tebakiriziganyiza era tewali kubusabuusa kwona.

Wabula abayambi ba kkooti okuli Maria Kyobijja ne  Hebert Masaba baasabye omulamuzi, Ssengendo okugibwako omusango kuba tewali bujjulizi bulaga nti, yenyigira mu kikolwa ekyo.

Mungeri y’emu bagambye nti wadde nnamukadde bamusobyako kyokka Gavumenti eremeddwa okumatiza kkooti nti Ssengendo eyakwatibwa yeyakikola.

Oludda oluwaabi lusabye omulamuzi, ssengendo okusibwa emyaka egisukka mu 17 okuba ekyokulabirako eri abasajja abalala abasobya ku bakyala.

Wabula mu kkooti olunnaku olw’eggulo, ssengendo yazzeemu okumatiza omulamuzi nti ye nnamukadde tamusobyako era yabadde mu maziga.

Omulamuzi Jane Francis Abodo  alangiridde olunnaku olw’nkya ku Lwokutaano nga 14, Desember, 2018 ssengendo okumusalira ekibonerezo.