Minisita wa Kampala Beti Olive Namisango Kamya-Turomwe myaka 63 alagidde abatundira ebintu ku nguudo za Kampala okukola obwangu baziveeko nga tebannayolwa.

Minisita Kamya alumiriza abantu bano okuleeta omugotteko mu Kampala so ng’era balemesa ab’amaduuka okukola emirimu.

Bw’abadde ku Media Center mu Kampala, Kamya agambye nti ab’amaduuka Gavumenti ebagyako omusolo okubayamba okutambuza emirimu omuli okukola enguudo, okuzimba amasomero, amalwaliro n’emirimu emirala.

Beti Olive Namisango Kamya
Beti Olive Namisango Kamya

Mu kwogera kwe, Minisita Kamya alabudde abatembeeyi okuddayo mu butale nga tebanakwatibwa kuba kimenya amateeka okutundira ku nguudo.

Wabula abatembeeyi bamwanukudde, bagambye nti balina famire era balina okunoonya ensimbi nga Minisita Kamya talina kubalemesa ssente.

Mungeri bamukolimidde okukomya okulowooza nti alina nnyo amaannyi kuba yabasanga mu Kampala era ajja kubalekamu nga Jennifer Musisi Ssemakula abadde akulira ekitongole ekya Kampala Capital City Authority (KCCA).