BBS Terefayina Eyaffe y’obwakabaka bwa Buganda efulumizza ekiwandiiko ku muwala Bahati Pascaline oluvanyuma lw’ebifaananyi bye okusasaanira omutimbagano gwa Face Book olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna ng’ali bukunya.
Aba BBS bagamba nti Bahati takyali mukozi wabwe kuba yakoma okukola ku BBS omwaka gumu oguyise.
BBS okuvaayo kirungi kuba sikyabuwangwa mu Buganda, abakyala okweyisa mu ngeri bwetyo wadde bangi ku bakyala bakikola Olw’omukwano.
Wadde Bahati yaliko ku BBS, mu kiseera kino takyali mukozi.





