Omulamuzi wa kkooti enkulu e Bushenyi akalize ssemaka myaka 16 ku by’okusobya ku mwana we myaka 3.

John Mujinya myaka 32 nga mutuuze ku kyalo Runya mu ggoombolola y’e Kyabandara mu disitulikiti y’e Sheema asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Dr.Flavian Zeija, nakiriza omusango ogw’okusobya ku mwana gwe baali bamulekedde okukuuma.

Kigambibwa mukyala we yali agenze ku Kanisa, kyokka yagenda okudda ng’omwana we ali mu maziga, alumizibwa wansi, agenda okumwekebejja nga bamusobezaako.

Omukyala yaduukira ku Poliisi, Mujinya nakwatibwa kyokka wadde yakiriza omusango, yasabye omulamuzi okumuwa ekibonerezo ekisamusaamu kuba alina amaka n’abaana baalina okulabirira.

Omulamuzi Zeija amusindiise ku nkomyo mu kkomera lya Gavumenti erya Nyamushekyera emyaka 16 era atwaliddwa mu kkomera wakati mu byokwerinda.