Kkooti y’amaggye e Makindye enkya ya leero lwegenda okuwa ensala yaayo oba Abdallah Kitatta eyali akulira Bodaboda 2010 alina omusango oba nedda.
Mu kkooti sabiti ewedde, munnamateeka wa Kitatta, shaban Sanywa yasaba ssentebbe wa kkooti Lt. Gen. Andrew Gutti okwejjereza omuntu we kuba oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Maj. Raphael Mugisha balemeddwa okuleeta obujjulizi obulumiriza omuntu we.

Ensonga eyo, yawaliriza Lt. Gen. Gutti okulangirira olunnaku olwaleero nga 17, December, 2018 okuwa ensala ye.
Kitatta avunaanibwa n’abalala 12 emisango gy’okusangibwa n’emmundu ssatu n’amasasi mu bumenyi bw’amateeka n’ebyambalo by’amaggye.
Kitatta yakwatibwa January 20, 2018 ku woteeri ya Vine Tea e Wakaliga mu Lubaga.
Abalala abavunaanibwa ne Kitatta kuliko kuliko Joel Kibirige, Matia Ssenfuka, Hassan Ssebatta, Jonathan Kayondo, Hassan Ssengooba, Ssande Ssemwogerere, John Ssebandeke, Husein Mugema, Amon Twinomujuni, Fred Bwanika, Ngobi Sowali ne Ssekajja Ibrahim.
Aba famire bawakanya ensalawo ya kkooti