BAMBI! Abayizi abasukka mu 1,400 bolekedde okusubwa okutikkirwa e Makerere, Prof Nawangwe awadde ensonga ze
Abayizi abasukka mu 1,400 bolekedde okusubwa okutikkirwa ku yunivaasite y’e Makerere ku matikkira ag’e 69 omwezi ogujja ogwa January 2019 nga kivudde ku nsimbi ezibabanjibwa.
Okusinzira kw’amyuka Chansala ku yunivaasite y’e Makerere Prof Barnabas Nawangwe, tewali muyizi yenna agenda kutikkirwa ng’abanjibwa era buli muyizi yenna ateekeddwa okuba n’ebiwandiiko ebiraga nti yamalayo ebisale.

Mungeri y’emu agambye nti abayizi bonna bawereddwa okutuusa nga 2, January 2019, okusasula ensimbi, okwewala okutaataganyizibwa.
Prof Nawangwe akakasiza nti mu kiseera kino, abayizi 12,000 bamaze okutuukiriza byonna ebyetagisa era balindiridde kutikkirwa okufuna ebbaluwa zaabwe.
Okusinzira ku ntekateeka, amatikkira gakutandika okuva 15 okutuusa 18, January, 2019 ku yunivaasite y’e Makerere.