Nnalulungi wa Ssemazinga wa Afrika, omwana enzalwa eya Uganda Quiin Abenakyo abikudde ekyama nti bannayuganda okwegata ku buli nsonga yonna, eggwanga lisobola okumanyika mu nsi yonna n’okulakulana.
Abenakyo bw’abadde eyogerako eri bannamawulire ku Sheraton Hotel mu Kampala enkya ya leero, agambye nti bannayuganda okwegata awamu ne bajjumbira okulonda, y’emu ku nsonga lwaki yatuuse ku buwanguzi, okulondebwa ng’omuwala owokusatu asinga obubalagavu mu nsi yonna ate asinga mu Africa.
Abenakyo myaka 22 agamba nti obumu abantu bwe balaze mu kumulonda, buteekeddwa okwolesebwa mu bintu omuli ebyemizannyo, okuyimba, katemba n’ebintu ebirala.

Mungeri y’emu asuubiza okweyambisa omukisa ogwamuwereddwa okusomesa abaana abawala ebintu ebyenjawulo n’okusingira ddala obuzibu obuli mu kufuna embuto ku myaka emito.
Abenakyo agamba nti obwa Nnalulungi bwa Ssemazinga wa Afrika ne Uganda bwa mwaka gumu kyokka wadde ekisanja kye kiweddeko, okusomesa n’okuyamba abaana abawala kibadde kirooto kye era okukyongerayo kuba abaana bangi abakoseddwa n’okusingira ddala bamulekwa abawangalira mu byalo.
Abenakyo yatuuse ku buwanguzi obwo mu kibuga Sanya mu ggwanga erya China era yakomyewo mu Uganda, olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu.

Wabula minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi agamba nti Uganda efunye omuntu omutuufu agenda okuyamba nnyo mu kutumbula ebyobulambuzi.
Ate omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni bwe yabadde akyaziza Abenakyo mu maka g’obwa Pulezidenti Entebbe akawungeezi k’olunnaku olweggulo ku Lwokusatu, yasuubiza nti Gavumenti egenda kumukwasizaako okutukiriza ekirooto kye eky’okuyamba abaana abawala n’okuwagira ekitongole ekikwasaganya bannalulungi ba Uganda ekya Miss Uganda Foundation.