Ani yatta Ibrahim Abiriga, Dr Kizza Besigye atabukidde Gavumenti ne Poliisi
Kyaddaki eyaliko Pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) Dr Kizza Besigye atabukidde Gavumenti n’ekitongole ekya Poliisi okulemwa okulaga eggwanga omuntu yenna ateeberezebwa okwenyigira mu kutta eyali omubaka wa Arua mu Palamenti Ibrahim Abiriga.

Abiriga yattibwa ne muto we era eyali omukuumi we Saidi Buga Kongo nga bakubwa ebyasi mu June 8, 2018 ku kyalo Kirinyabigo mu zzooni y’e Kayi e Kawanda bwe baali badda mu maka ga Abiriga okusiibulukuka.
Wabula enkya ya leero, Dr Besigye bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu makaage agasangibwa e Kasangati, atadde Gavumenti ku nninga okuvaayo okulaga eggwanga mu lujjudde ani yatta Abiriga kuba eggwanga lyetaaga okumanya abatemu.
Besigye era agambye nti ettemu ly’emmundu lyeyongedde mu ggwanga omuli okuttikwa kwa ASP Muhammad Kirumira, Dr Gwaluka Ibrahim abadde akulira eddwaaliro lya Kigandaalo Health Centre IV mu Disitulikiti y’e Mayuge n’abalala kyokka Gavumenti ekyalemeddwa okulaga abatemu.