Ekivvulu kya Bobi Wine e Busabala ku One Love Beach nga 26, December, 2018 ku Boxing Day kikyali matankane era tekimanyiddwa oba gyekiri.

Sabiti eno, Bobi Wine yatandiise okulanga nti okuyingira 10,000 era mbu abayimbi bangi nnyo abagenda okuyimba, okukyamula abadigize.

Wabula okusinzira ku muyimbi Nubian Li, wadde batandiise okulanga, tebanafuna kudibwamu okuva eri ekitongole kya Poliisi okakasibwa nti bakiriziddwa.

Mungeri y’emu agambye nti Poliisi bagiwandikira okugisaba olukusa okubawa ebyokwerinda kyokka ekyalemeddwa okubaddamu.

Nubian Li era agambye nti ebivvulu byabwe byonna Poliisi byesazizaamu, tebafunye kiwandiiko kyonna okuva eri Poliisi kuba batya okubatwala mu kkooti.

Ebigambo bya Nubian Li biraga nti wadde balindiridde okusanyusa abadigize ku Boxing Day, tekimanyiddwa oba Poliisi tebayimirize ku ssaawa esembayo.

Poliisi eyimiriza ebivvulu bya Bobi Wine eby’enjawulo ku bigambibwa nti asukkiridde okubyeyambisa mu byobufuzi n’okutambuza kampeyini ya People Power.