Poliisi ekutte emmotoka ekika kya Takisi namba UAW 299A eteberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo n’okusingira ddala ku Northern Bypass.
Mu mmotoka musangiddwamu ebintu ebyenjawulo omuli ensawo z’abakyala, amassimu g’ekika kya Smart Phone agasukka mu 10 agateberezebwa okubeera amabbe era abantu babiri (2) bakwattiddwa.

Poliisi egamba nti emmotoka eyo, eteberezebwa okweyambisibwa mu kubba abasabaze era okunoonyereza kutandiise.
