Ssenkulu wa 100.2 Galaxy FM, Kagwirawo Sports Betting, Bluecube, Club Amnesia ne Zzina Land Dr Innocent Nahabwe y’omu ku bannayuganda abalondeddwa okulemberwamu kampeyini y’okutangira obubenje ku nguudo.

Mu kampeyini etuumiddwa ‘Join the Pact to never drink and drive‘ egendereddwamu okusomesa abadigize okwewala okuvuga ebiduuka n’okusingira ddala emmotoka nga batamidde.

Kampeyini yonna ekulembeddwamu kkampuni ensogozi y’omwenge eya Uganda Breweries Limited (UBL), era egendereddwamu okukendeza ku bubenje ku nguudo n’okusingira ddala mu kiseera kino nga buvudde ku bantu okuvuga nga batamidde.

Ku nsonga eyo, Dr Innocent agamba nti y’omu ku bannayuganda abasinga okutunda omwenge mu Kampala ku Club Amnesia ne Zzina Land e Mpererwe era kimukakatako okusomesa bakasitoma okwekuuma obulungi kuba abantu abalamu bebanywa omwenge era y’emu ku nsonga lwaki avuddeyo okwegata ku kampeyini eyo.