Omubaka w’e Aruu mu Palamenti Samuel Odonga Otto afunye akabenje enkya ya leero era awereddwa ekitanda mu Bishop Ceaser Asili Hospital mu disitulikiti y’e Luweero.
Akabenje kabadde ku luguudo lwa Kampala-Gulu mu katawuni k’e Katuugo mu disitulikiti y’e Nakasongola era mu ddwaaliro atwaliddwa ng’alumizibwa amagulu ne mu kifuba.

Okusinziira ku beerabiddeko n’agaabwe, Otto abadde avuga mmotoka ekika kya Land cruiser namba UBA 832S kwekuyingirira ekyana kya Tuleela eyafiridde mu kkubo namba UAV 837 J/UAD991Q.
Otto abadde ava Gulu okuda mu kibuga Kampala.