Kyaddaki omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine alambuludde amakulu g’ekigambo “Twebereremu” kyasinga okukozesa ennyo ensangi zino mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Kigambibwa eyaliko Pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) Dr Kizza Besigye yeemulugunya ku kigambo ekyo “Twebereremu” mbu kisosola mu mawanga wabula Bobi Wine yayanguwa okuvaayo okuwakanya endowooza ya Dr Besigye.
Olunnaku olw’eggulo, Bobi Wine yabadde ku mukolo ogwategekeddwa Pulezidenti w’ekibiina ekya Justice Forum (JEEMA) Asuman Basalirwa ogw’okwebaza abantu abaamuwa akalulu gyebuvuddeko ng’omubaka we Bugiri era omukolo bwe gwawedde, Bobi Wine yasobodde okweyambisa omutimbagano gwa ‘Face book’ okulambulula amakulu g’ekigambo Twebereremu.
Bobi Wine agamba nti okweberelamu kitegeeza okukuuma emirembe n’okulwanirira eddembe lyabwe ku buli nsonga yonna, “When we talk about okwebelelamu this is what we mean- being peaceful but assertive in our quest for our rights. That is how we shall win our freedom”.