Kyaddaki omuwabuzi wa Pulezidenti Tamale Mirundi awadde ezimu ku nsonga lwaki omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ayinza okudda mu bigere bya mukama we Yoweri Kaguta Museveni mu kulonda kwa 2021.

Tamale agamba nti asobodde okulondoola ebyobufuzi mu nsi yonna n’okusingira ddala mu Africa kyokka abakulembeze ab’amaanyi bazze basikirwa abakulembeze abanafu abatagya mu ‘buzito bwabwe’.

Bwe yabadde ku laadiyo emu mu Kampala, Tamale yawadde  eky’okulabirako ku bakulembeze ab’amaanyi abagiddwa mu buyinza ne basikirwa abantu abanafu omuli eyali pulezidenti wa Kenya Jomo Kenyatta eyasikirwa Daniel Arap Moi ne Keneth Kawunda owa Zambia eyasikirwa Frederick Jacob Titus Chiluba.

Tamale alabudde Bobi Wine okugumya Omugongo kuba embeera eri mu ggwanga okulaga nti yegwanyiza obuyinza, balina okumuyiga mu ngeri ezenjawulo.

Mungeri y’emu alabudde nti Bobi Wine embeera gy’alimu ey’okumutuntuza, kyongera kunafuya abakulembeze abenjawulo omuli Dr Kizza Besigye n’abalala.