Poliisi y’e Jinja ekutte omusuubuzi w’amata ku kyalo Mpumudde-Kimaka, Frank Kaduyu myaka 33 ku by’okusiyaga omwana myaka 16.
Omwana (amannya gasirikiddwa) yaggya mu Uganda ng’omugwira okuva mu ggwanga erya South Sudan kyokka bwe yatuuka mu disitulikiti y’e Moyo, kwekutegeezebwa nti nnyina yaddamu okufuna omusajja omulala nafumbirwa mu kibuga kye Jinja.
Agamba bwe yatuuka mu kibuga Jinja ng’akyanoonya nnyina, omusuubuzi Kaduyu yamutuukirira namusuubiza okumuwa omuliru era namwanjula eri abakulembeze ku kyalo ne Poliisi y’oku kitundu.
Omwana agamba nti nga 24, December, 2018, Kaduyu yakwata akambe obudde obw’ekiro era namusuubiza okumutta era namulagira okugyamu empale, namukozesa.
Omusuubuzi okwattibwa, kyadiridde omwana okuddukira eri ssentebbe w’ekyalo Market Zone B, John Obara okwekubira enduulu.
Poliisi yasobodde okwekebejja amaka g’omusuubuzi Frank Kaduyu era mwasangiddwamu bokisi za Kondomu n’akambe.
Okusinzira kw’aduumira Poliisi y’e Jinja Vincent Irama okunoonyereza kwatandiise dda era ssaawa yonna omusuubuzi bamutwala mu kkooti.
Mungeri y’emu agambye nti omwana atwaliddwa mu ddwaaliro era asangiddwamu kondomu gy’afulumira.