Omwana myaka 2 attiddwa era omulambo gwe gusangiddwa mu kinnya kya kazambi e Bunamwaya.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, omwana Kabali Alton, kiteberezebwa nti yatugiddwa nattibwa mu bukambwe ku Mmande nga 31, December, 2018.
Mu kiseeera kino, Poliisi ekwataganyeeko n’abazadde, okunoonyereza abenyigidde mu tteemu eryo.
Owoyesigyire era agambye nti omwana Kabali yattiddwa ku mazaalibwa ge era abazadde babadde bategese akabaga.
Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa.
Eddoboozi lya Luke