Mu Uganda, omuyimbi Pia Pounds okuva mu Big Talent y’omu ku bawala bebalumiriza okutabangula emirembe mu bufumbo bwa Rema Namakula.

Kigambibwa Eddy Kenzo akubirira emmese ya Pounds n’abawala abalala era mbu y’emu ku nsonga lwaki Rema ne Kenzo balina obutakwatagana.

Nga twakayingira omwaka 2019, Pia Pounds alaze nti y’omu ku bawala buli musajja yenna balina okwegomba kuba asobodde okulaga ebifaananyi nga y’omu ku bayimbi abalina ‘Work’.

Wadde abamu ku basajja beyisaako, omubiri gwa Pia Pounds abamu ku bannayuganda ku mukutu ogwa Face Book bagamba nti alina ekigendererwa okutengula emitima gy’abasajja omuli ne Kenzo mu 2019 okusobola okukyankalanya obufumbo bwa Rema.